Matthew 7:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Si buli muntu aŋŋamba nti: ‘Mukama, Mukama,’ y'aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu ky'ayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ si ye aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu addiŋŋana okumpita obuyisi nti: ‘Mukama wange, Mukama wange,’ si ye aliyingira Obwakabaka obw'omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala.