Matthew 7:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku lunaku luli, bangi baliŋŋamba nti: ‘Mukama, Mukama, tetwalanganga mu linnya lyo, tetwagobanga emyoyo emibi mu linnya lyo, tetwakolanga ebikolwa eby'amaanyi bingi mu linnya lyo?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku luli, bangi baliŋŋamba nti: ‘Mukama waffe, Mukama waffe, tetwayigirizanga mu linnya lyo? Tetwagobanga emyoyo emibi ku bantu nga tukozesa erinnya lyo? Era tetwakolanga ebyamagero bingi mu linnya lyo?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bangi abaliŋŋmba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo?