Matthew 7:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebitukuvu temubiwanga mbwa; n'amalulu gammwe temugasuuliranga mbizzi, sikulwa nga zigalinnyirira n'ebigere byazo ate ne zibakyukira ne zibataagulataagula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ekintu ekitukuvu temukiwanga mbwa, era temusuulanga luulu zammwe mu maaso ga mbizzi, zireme okuzirinnyirira n'ebigere byazo, ne zikyuka okubaluma.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekitukuvu temukiwanga mbwa, sikulwa nga zibakyukira ne zibaluma. Era amayinja gammwe ag'omuwendo temugasuulanga mu maaso ga mbizzi, sikulwa nga zigalinnyirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temuwanga mbwa ekintu ekitukuvu, so temusuulanga luulu zammwe mu maaso ga mbizzi, zireme okuzirinnyirira n'ebigere byazo, ne zikyuka okubaluma.