Matthew 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'agamba abaali bamugoberera nti: “Mazima mbagamba nti yadde mu Yisirayeli, sinnasanga kukkiriza kuli ng'okwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, n’agamba abaali bamugoberera nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu bwe yawulira, ne yeewuunya, n'agamba abaayita naye nti, “Ddala mbagamba nti Sinnalaba kukkiriza kunene nga kuno, newakubadde mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'agamba abaali bamugoberera nti: “Mazima mbagamba nti: sisanganga alina kukkiriza nga kuno wadde mu bantu ba Yisirayeli!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu bwe yawulira, ne yeewuunya, n'agamba abaayita naye nti Ddala mbagamba nti Sinnalaba kukkiriza kunene nga kuno, newakubadde mu Isiraeri.