Matthew 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka mbabuulire: Bangi baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba ne batuula wamu ne Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo mu bwakabaka obw'omu ggulu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obw’omu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange mbagamba nti Bangi abaliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, abalituula awamu ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, mu bwakabaka obw'omu ggulu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne batuula ku mbaga ne Aburahamu, ne Yisaaka, ne Yakobo mu Bwakabaka obw'omu ggulu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange mbagamba nti Bangi abaliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, abalituula awamu ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, mu bwakabaka obw'omu ggulu: