Matthew 8:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde nga buwungedde, ne bamuleetera bangi abakwatiddwa emyoyo emibi; emyoyo n'agigoba na kigambo bugambo, n'awonya bonna abaali abalwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. N’ayogera bwogezi kigambo baddayimooni n’abagoba, era n’awonya n’abalala bonna abaali balwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obudde bwali buwungedde, ne bamuleetera bangi abakwatiddwa dayimooni; n'agoba dayimooni n'ekigambo n'awonya bonna abaali balwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde nga buwungedde, ne baleetera Yesu abantu bangi abaliko emyoyo emibi, n'agibagobako ng'agiboggolera, era bonna abaali balwadde, n'abawonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obudde bwali buwungedde; ne bamuleetera bangi abakwatiddwa dayimooni: n'agoba dayimooni n'ekigambo n'awonya bonna abaali balwadde: