Matthew 8:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya omulanzi kye yayogera kituukirire nti: “Yatwala obuyongobevu bwaffe, ne yeetikka endwadde zaffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe kityo ekigambo ekyayogerebwa mu nnabbi Isaaya ne kituukirira bwe yagamba nti: “Yatuwonya endwadde zaffe, era n’atwala obunafu bwaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo kituukirire ekyayogerwa nnabbi Isaaya, ng'agamba nti, “Ye yennyini yatwala obunafu bwaffe, ne yeetikka endwadde zaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kyali bwe kityo, omulanzi Yisaaya kye yayogera kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Ye yennyini yatwala obuyongobevu bwaffe, n'aggyawo endwadde zaffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekigambo kituukirire ekyayogerwa nnabbi Isaaya, ng'agamba nti Ye yennyini yatwala obunafu bwaffe, ne yeetikka endwadde zaffe.