Matthew 8:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Mutya biki, mmwe ab'okukkiriza okutono?” N'agolokoka, omuyaga n'ennyanja n'abikomako; ne guba mulaala nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?” N’agolokoka n’aboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja n’eteeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Kiki ekibatiisa, mmwe abalina okukkiriza okutono?” N'alyoka agolokoka, n'alagira omuyaga n'amayengo okukkakkana, ennyanja n'eteeka nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Lwaki mutidde? Nga mulina okukkiriza kutono!” N'agolokoka, n'alagira omuyaga n'amayengo okukkakkana, ennyanja n'eteekera ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Kiki ekibatiisa, abalina okukkiriza okutono? N'alyoka agolokoka, n'akoma ku mpewo n'ennyanja; n'eteeka nnyo.