Matthew 8:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne beewuunya nga bagamba nti: “Muntu wa kika ki ono okuba nti omuyaga n'ennyanja bimuwulira?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne beewuunya, ne bagamba nti, “Muntu ki ono, empewo n'ennyanja okumuwulira?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono muntu wa ngeri ki? Olaba n'omuyaga n'amayengo bimuwulira!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne beewuunya, nga bagamba nti Muntu ki ono, empewo n'ennyanja okumuwulira?