Matthew 8:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuuka emitala mu nsi y'Abagadara, abantu babiri abakwatiddwa emyoyo emibi ne bajja okumusisinkana nga bava mu biggya; baali bakambwe nnyo nga tewali na muntu ayinza kusala kkubo eryo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yatuuka emitala w’eri mu nsi y’Abagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gy’ali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yatuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagadaleni, abantu babiri abaaliko dayimooni, ne bamusisinkana nga bava mu ntaana, baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza okuyita mu kkubo eryo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yatuuka emitala w'ennyanja, mu nsi y'Abagadara, abantu babiri abaliko emyoyo emibi, ne bamusisinkana nga bava mu mpuku eziziikibwamu abafu. Abasajja bano baali bakambwe nnyo, nga tewali muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe yatuuka emitala w'eri mu nsi y'Abagadaleni, ne bamusisinkana abantu babiri abaaliko dayimooni, nga bava mu ntaana, bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza okuyita mu kkubo eryo.