Matthew 8:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bawowoggana nga bagamba nti: “Otwagaza ki ggwe, Omwana wa Katonda? Ozze wano okutubonyaabonya ng'obudde tebunnatuuka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bawowoggana nnyo nti, “Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ng’ekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ne boogerera waggulu ne bagamba nti, “Otuvunaana ki, ggwe Omwana wa Katonda? Ozze wano kutubonyaabonya ng'entuuko zaffe tezinnaba kutuuka?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bawowoggana nga bagamba nti: “Otuvunaana ki, ggwe Omwana wa Katonda? Ozze okutubonyaabonya ng'ekiseera tekinnatuuka?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ne boogerera waggulu ne bagamba nti otuvunaana ki, Omwana wa Katonda? ozze wano kutubonyaabonya ng'entuuko zaffe tezinnaba kutuuka?