Matthew 8:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agigamba nti: “Mugende.” Ne gibamaamukako, ne gyefubitika mu mbizzi. Awo eggana lyonna ne lifubutuka okuva waggulu ku bbanga, ne lyesolessa mu nnyanja, ne lifiira mu mazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’agamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agigamba nti, “Mugende.” Ne gibavaako, ne gigenda mu mbizzi; kale, laba ekisibo kyonna ne kifubutuka ne kiserengetera ku bbangabanga, ne kyesuula mu nnyanja, ne zifiira mu mazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agigamba nti: “Mugende.” Ne gibavaako, ne giyingira mu mbizzi. Eggana lyonna ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifiira mu mazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agigamba nti Mugende. Ne gibavaako, ne gigenda mu mbizzi: kale, laba, ekisibo kyonna ne kifubutuka ne kiserengetera ku bbangabanga mu nnyanja, ne zifiira mu mazzi.