Matthew 8:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ekibuga kyonna ne kifuluma okusisinkana Yezu. Bwe baamulaba, ne bamwegayirira ave mu kitundu kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu b’omu kibuga bonna ne bafuluma okujja okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba ne bamwegayirira abaviire mu kitundu kyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ekyalo kyonna ne kijja okusisinkana Yesu; bwe baamulaba, ne bamwegayirira okuva mu kitundu kyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne bava mu kibuga okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba, ne bamwegayirira ave mu kitundu kyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ekyalo kyonna ne kijja okusisinkana Yesu: bwe baamulaba, ne bamwegayirira okuva mu nsalo zaabwe.