Matthew 8:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Laba nti tobaako gw'obuulira; wabula genda weeyoleke ewa kabona, oweeyo ekitone Musa kye yalagira, ng'obukakafu gye bali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amugamba nti, “Laba, tobaako muntu n’omu gw’obuulira, wabula genda weerage eri kabona otwaleyo n’ekirabo nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amugamba nti, “Laba tobuulirako muntu n'omu; naye genda weerage eri kabona, omutwalire ekitone Musa kye yalagira, kibeere omujulirwa gyebali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Laba, tobuulirako muntu n'omu, wabula genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amugamba nti Laba tobuulirako muntu; naye ddayo weerage eri kabona, omutwalire ekitone Musa kye yalagira, kibeere omujulirwa gye bali.