Matthew 8:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nnina n'abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba omu nti: ‘Genda,’ ng'agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ng'ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kino kikole’ ng'akikola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ era ajja, n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala; bwe ŋŋamba oyo nti, ‘Genda,’ agenda, n'omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n'omuddu wange nti, ‘Kola bwoti,’ bw'akola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nange ndi muntu mutwalibwa, era nga nnina abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba ono nti ‘Genda’, agenda; n'omulala nti ‘Jjangu’, ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kola kino’, akikola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina baserikale be ntwala: bwe ŋŋamba oyo nti Genda, agenda: n'omulala nti Jjangu, ajja; n'omuddu wange nti Kola oti, bw'akola.