Matthew 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali mu nnyumba ng'atudde ku lujjuliro okulya, abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi ne bajja ne batuula wamu ne Yezu n'abayigirizwa be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku mmere mu nnyumba ya Matayo, abawooza bangi n’abantu abaali bamanyiddwa mu kitundu ekyo nti babi ne bajja ne batuula naye n’abayigirizwa be ku mmere ne balya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'atudde mu nju ng'alya, laba, abawooza bangi ne bajja, n'abantu ababi bangi, ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, Yesu bwe yali mu nnyumba ng'atudde okulya, abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi ne bajja, ne batuula ne Yesu era n'abayigirizwa be okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yali ng'atudde mu nju ng'alya, laba, ne wajja abawooza bangi, n'abantu ababi bangi, ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa be.