Matthew 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale mugende muyige kino kye kitegeeza, nti: ‘Njagala kisa sso si kitambiro.’ Abatuukirivu si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugende muyige amakulu g’Ekyawandiikibwa kino nti, ‘Ssaddaaka zammwe n’ebirabo byammwe si bye neetaaga, wabula neetaaga mubeerenga ba kisa.’ Najjirira kuyita boonoonyi, so sajjirira abo abeerowooza nti batuukirivu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mugende muyige amakulu g'ekigambo kino nti, ‘Njagala kisa, so si ssaddaaka,’ kubanga sajja kuyita batuukirivu, wabula abantu ababi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mugende mwetegereze amakulu g'ekigambo kino nti: ‘Ekisa kye njagala sso si kitambiro.’ Abalungi si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mugende muyige amakulu g'ekigambo kino nti Njagala kisa, so si ssaddaaka kubanga sajja kuyita batuukirivu, wabula abantu ababi.