Matthew 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa ba Yowanna ne bajja gy'ali, ne bagamba nti: “Lwaki ffe n'Abafarisaayo tusiiba, sso ng'abayigirizwa bo tebasiiba?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwali lumu abayigirizwa ba Yokaana ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebasiiba nga ffe n’Abafalisaayo bwe tukola?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abayigirizwa ba Yokaana, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, “Kiki ekitusiibya ffe n'Abafalisaayo emirundi emingi, naye abayigirizwa bo nga tebasiiba?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abayigirizwa ba Yowanne ne bajja eri Yesu, ne babuuza nti: “Lwaki ffe, n'Abafarisaayo tusiiba emirundi mingi, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne walyoka wajja w'ali abayigirizwa ba Yokaana ne bagamba nti Kiki ekitusiibya ffe n'Abafalisaayo emirundi emingi, naye abayigirizwa bo tebasiiba?