Matthew 9:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Ddala abagenyi ku mbaga y'obugole bayinza okukungubaga ng'awasizza akyali nabo? Ennaku zirituuka, awasizza n'abaggyibwako, olwo balisiiba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’ababuuza nti, “Mikwano gy’omugole bayinza okunakuwala ng’omugole akyali nabo? Naye ekiseera kirituuka omugole lwalibaggibwako. Olwo nno balisiiba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abaddamu nti, “Abaana ab'omu mbaga ey'obugole bayinza batya okunakuwala awasizza omugole ng'akyali nabo? Naye ennaku zigenda okujja awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Abayite ku mbaga y'obugole tebayinza kunakuwala ng'awasizza omugole akyali nabo. Naye ekiseera kijja, awasizza omugole abaggyibweko. Olwo nno balisiiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abagamba nti Abaana ab'omu mbaga ey'obugole bayinza batya okunakuwala awasizza omugole ng'akyali nabo? naye ennaku zigenda okujja awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba.