Matthew 9:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'evviini ensu tefukibwa mu nsawo nkadde; bwe bakola batyo, ensawo tezirema kutulika, evviini n'eyiika n'ensawo ne zoonooneka. Evviini ensu efukibwa mu nsawo mpya; byombi lwe bikuumibwa obulungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era tewali ateeka wayini musu mu nsawo ez’amaliba enkadde. Ensawo enkadde zaabika wayini n’ayiika n’ensawo ne zoonooneka. Wayini omusu bamuteeka mu nsawo z’amaliba maggya, byombi ne bitayonooneka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tebateeka mwenge musu mu nsawo za maliba enkadde; kubanga bwe bakola bwe batyo, ensawo ez'amaliba ziyulika, n'omwenge guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana; naye bateeka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba empya, byombi birama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era omwenge ogw'emizabbibu omusu, tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya, byombi lwe bikuumibwa obulungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebafuka mwenge musu mu nsawo za maliba enkadde; kubanga bwe bakola bwe batyo, ensawo ez'amaliba ziyulika, n'omwenge guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana: naye bafuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba empya, byombi birama.