Matthew 9:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu yali akyayogera nabo ebigambo ebyo, ne wajjawo omukungu, n'amuvunnamira, n'agamba nti: “Muwala wange yaakakutuka; naye jjangu omusseeko omukono gwo, alamuke.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yali ng’akyayogera nabo omufuzi n’ajja, n’amusinza n’amugamba nti, “Omwana wange omuwala anfuddeko, naye singa ojja n’omukwatako anaalamuka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali ng'akyabagamba ebigambo ebyo, ne wajja omwami omu, n'amusinza n'agamba nti, “Muwala wange kaakano afudde; naye jjangu omuteekeko emikono, anaalamuka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu yali akyabagamba ebyo, omukungu omu n'ajja n'amufukaamirira, n'agamba nti: “Muwala wange yaakafa, naye jjangu omukwateko, anaalamuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'aky’abagamba ebigambo ebyo, ne wajja omwami omu, n'amusinza n'agamba nti Muwala wange kaakano afudde: naye jjangu omuteekeko omukono, anaalamuka.