Matthew 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne bamuleetera omulwadde akonzibye nga bamugalamizza ku lunnyo. Yezu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba akonzibye nti: “Guma, mwana wange; ebibi byo bisonyiyiddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago ne bamuleetera omuntu eyali akoozimbye nga bamusitulidde ku katanda. Bwe yalaba okukkiriza kwabwe n’agamba omulwadde nti, “Mwana wange, guma omwoyo, nkusonyiye ebibi byo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bamuleetera omulwadde eyali akoozimbye, ng'agalamizibbwa ku kitanda; naye Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuleetera omuntu akonvubye. Baamuleeta agalamidde ku katanda. Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba akonvubye nti: “Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo mbikusonyiye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamuleetera omulwadde akoozimbye, ng'agalamizibbwa ku kitanda: naye Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba oyo akoozimbye nti Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo bikuggiddwako.