Matthew 9:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali ayita ng'ava eyo, bamuzibe babiri ne bamugoberera nga bakoowoola nti: “Tusaasire, Omwana wa Dawudi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu bwe yavaayo, abazibe b'amaaso babiri ne bamugoberera, nga boogerera waggulu nga bagamba nti, “Tusaasire, ggwe omwana wa Dawudi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yava eyo, bamuzibe babiri ne bamugoberera nga baleekaana, nga bagamba nti: “Omuzzukulu wa Dawudi, tusaasire!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu bwe yavaayo, abazibe b'amaaso babiri ne bamugoberera, nga boogerera waggulu nga bagamba nti Tusaasire, ggwe omwana wa Dawudi.