Matthew 9:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuuka eka, bamuzibe ne basembera w'ali. Yezu n'abagamba nti: “Mukkiriza nga kino nnyinza okukikola?” Bo ne bamugamba nti: “Yee, Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja w’ali. Yesu n’ababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yatuuka mu nju, abazibe b'amaaso ne bajja gy'ali; Yesu n'ababuuza nti, “Mukkirizza nga nnyinza okukola kino?” Ne bamuddamu nti. “Weewaawo, Mukama waffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yatuuka mu nnyumba, bamuzibe abo ne bajja w'ali, n'ababuuza nti: “Mukkiriza nga nnyinza okukola kino?” Ne bamuddamu nti: “Weewaawo, Ssebo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yatuuka mu nju, abazibe b'amaaso ne bajja gy'ali: Yesu n'abagamba nti Mukkirizza nga nnyinza okukola kino? ne bamugamba nti Weewaawo, Mukama waffe.