Matthew 9:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'akwata ku maaso gaabwe, n'agamba nti: “Kale, kibakolerwe nga bwe mukkiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’akoma ku maaso gaabwe n’abagamba nti, “Kale, olw’okukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alyoka akwata ku maaso gaabwe ng'agamba nti, “Nga bwe mukkirizza kibeere gye muli bwe kityo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'akwata ku maaso gaabwe, n'agamba nti: “Kibakolerwe nga bwe mukkirizza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alyoka akoma ku maaso gaabwe ng'agamba nti Nga bwe mukkirizza kibeere gye muli bwe kityo.