Matthew 9:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo omubi bwe gwamala okugobwamu, kasiru n'ayogera; ekibiina ne kyewuunya, abantu ne bagamba nti: “Ekifaanana kiti tekirabikangako mu Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala n’ayogera. Ekibiina ky’abantu ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amugobako dayimooni, kasiru n'ayogera; ebibiina ne byewuunya, ne bigamba nti, “Edda n'edda tewalabikanga ekiri nga kino mu Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yamugobaako omwoyo omubi, kasiru n'ayogera. Abantu ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ekiri nga kino tekirabikangako mu Yisirayeli!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agoba dayimooni, kasiru n'ayogera; ebibiina ne byewuunya, ne bigamba nti Edda n'edda tewalabikanga bwe kiti mu Isiraeri.