Matthew 9:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abafarisaayo bo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ku bwa mukulu w'emyoyo emibi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni lwa kubanga ye mukulu wa baddayimooni!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba dayimooni nga akozesa buyinza bwa mukulu wa dayimooni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abafarisaayo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ng'akozesa buyinza bwa mukulu waagyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abafalisaayo ne bagamba nti Agoba dayimooni ku bwa mukulu wa dayimooni.