Matthew 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yalaba bye balowooza, n'agamba nti: “Mulowooleza ki obubi mu mitima gyammwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amanya bye balowooza. N’abagamba nti, “Lwaki mubeera n’ebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba nti, “Kiki ekibalowoozesa obubi mu mitima gyammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yalaba ebirowoozo byabwe, n'agamba nti: “Lwaki mulowooza obubi mu mitima gyammwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba nti Kiki ekibalowoozesa obubi mu mitima gyammwe?