Matthew 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale mmwe okumanya ng'Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi obw'okusonyiwa ebibi,” - awo n'agamba akonzimbye nti: “Situka, kwata olunnyo lwo ogende ewammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mutegeere nga Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n’agamba akoozimbye nti, “Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mutegeere ng'Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi,” n'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “Yimirira, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: “Yimirira, weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mutegeere ng'Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi n'agamba oyo akoozimbye nti Yimirira, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.