Matthew 9:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yali ayita ng'ava eyo, n'alaba omusajja ng'atudde mu ggwoolezo, erinnya lye ye Matayo, n'amugamba nti: “Ngoberera.” N'asituka, n'amugoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo n’alaba omuntu, erinnya lye Matayo, ng’atudde mu kifo we basolooleza omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Bw’atyo naye n’asitukiramu n’agoberera Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yavaayo n'alaba omuntu, ayitibwa Matayo, ng'atudde mu ggwoolezo; n'amugamba nti, “Yita nange.” N'asituka, n'amugoberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'alaba omuntu ayitibwa Matayo, ng'atudde we basolooleza omusolo. N'amugamba nti: “Yitanga nange.” Matayo n'asituka, n'amugoberera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu bwe yavaayo n'alaba omuntu, ayitibwa Matayo, ng'atudde mu ggwoolezo: n'amugamba nti Yita nange. N'agolokoka, n'ayita naye.