Micah 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatuuze b'omu Safiri, muyiteewo nga muli busa nga n'ensonyi zibatta; abasula mu Zaanani, tebafulumanga; Beti-Yezeli ali mu kukuba biwoobe, akuggyeko obukuumi bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde, mmwe ababeera mu Safiri. Ababeera mu Zanani tebalifuluma. Beswezeeri ekuba ebiwoobe, kubanga tokyalinayo buddukiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muveeyo, muyitewo mmwe ababeera mu Safiri, nga muli bwereere, era nga mukwatibbwa ensonyi; mmwe ababeera mu Zanani temuvaayo, ebiwoobe ebya Beswezeeri, birikuggyako ekifo kyabyo eky'okuyimiriramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe ab'omu Safiri, mukwate ekkubo mugende mu buwaŋŋanguse nga temwambadde era nga muswadde. Mmwe abatuuze b'omu Zaanani, muleme kuva mu kibuga kyammwe. Bwe muliwulira ebiwoobe mu Betezeeli, mulimanya nti eyo teriiyo buddukiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muyite muveeyo, ggwe abeera mu Safiri, ng'oli bwereere, era ng'okwatibwa ensonyi; oyo abeera mu Zanani tavuddeemu; ebiwoobe bya Beswezeeri birikuggyako ekikondo kyakyo.