Micah 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasula mu Lakisi, embalaasi muzisibe ku bigaali. Mmwe mwali entandikwa y'ekibi kya muwala wa Siyoni, kubanga emisango gya Yisirayeli gyasangibwa mu ggwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi mmwe ababeera mu Lakisi. Mmwe nsibuko y’ekibi mu Bawala ba Sayuuni, kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musibe amagaali ku mbalaasi ezisinga embiro, mmwe ababeera mu Lakisi, mmwe mwali entandikwa ye kibi eri omuwala wa Sayuuni, kubanga mu ggwe, mu ggwe mwe mwalabikira okwonoona kwa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abatuuze b'e Lakisi, musibe embalaasi ku magaali: mwakoppa ebibi bya Yisirayeli ne muleetera Yerusaalemu okwonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Siba eggaali ku mbalaasi esinga embiro, ggwe abeera mu Lakisi: oyo ebibi kwe byasookera eri omuwala wa Sayuuni; kubanga ebyonoono bya Isiraeri byalabika mu ggwe.