Micah 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwulire, mmwe amawanga mwenna, mutegereze, ggwe ensi na bonna abagirimu, Omukama Katonda y'aba abalumiriza, Omukama ng'ayima mu Kiggwa kye ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulire mmwe abantu mwenna, muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu, Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu, ng’alina by’abalumiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire, mmwe ab'amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi ne byonna ebirimu, Mukama Katonda abe mujulirwa gye muli, Mukama ng'asinziira mu Yeekaalu ye entukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulire kino mmwe abali mu mawanga gonna. Ggwe ensi ne byonna ebikuliko, mutege amatu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire, mmwe ab'amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi, n'ebyo byonna ebirimu; Mukama Katonda abe mujulirwa eri mmwe, Mukama ng'ayima mu yeekaalu ye entukuvu.