Micah 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuyo Omukama ajja ng'ava mu kifo kye, akkirira, alinnyirira ebifo ebigulumivu eby'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, Mukama ajja ng'ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama aliva mu kifo kye ekitukuvu, n'akka, n'atambulira ku ntikko z'ensozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, Mukama ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi.