Micah 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensozi wansi we zisaanuuka, ebiwonvu biryebukamu ng'envumbo awali omuliro, ng'amazzi agakkirira akaserengeto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro, ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ensozi zirisaanuuka wansi we, n'enkonko ziryatikayatika, ng'envumbo bw'esaanuukira mu muliro, ng'amazzi agayiiriddwa okuva ku lusozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensozi zirisaanuukira wansi we, ng'envumbo bw'esaanuukira mu muliro. Zirikuluggukira mu biwonvu, ng'amazzi agava ku kasozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensozi zirisaanuuka wansi we n'enkonko ziryatika ng'ebisenge by'enjuki mu maaso g'omuliro, ng'amazzi agayiikira awali ebbanga.