Micah 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo byonna bya kubaawo olw'omusango gwa Yakobo n'ebibi by'ennyumba ya Yisirayeli. Omusango gwa Yakobo guluwa? Si Samariya? Ate omusango gwa Yuda guluwa? Si Yeruzaalemu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo, olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri. Ekibi kya Yakobo kye kiruwa? Si ye Samaliya? Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda? Si Yerusaalemi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byonna biribaawo olw'okwonoona kwa Yakobo era n'olw'ebibi eby'ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? Si Samaliya? Era ekibi eky'ennyumba ya Yuda kiki? Si Yerusaalemi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna biribaawo, kubanga Abayisirayeli bakoze ebibi, ne bajeemera Katonda. Ani avunaanibwa olw'ebibi bya Yisirayeli? Si Samariya ekibuga kyayo ekikulu? Ani avunaanibwa olw'ekibi kya Buyudaaya? Si Yerusaalemu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okwonoona kwa Yakobo ebyo byonna biribaawo n'olw'ebibi eby'ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? si Samaliya? ebifo ebigulumivu ebya Yuda kiki? si Yerusaalemi?