Micah 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebifaananyi byakyo byonna ebya balubaale biriseseggulwa, empeera yaakyo yonna eryokebwa omuliro, ebifaananyi byakyo byonna ebya balubaale ndibizikiriza; kubanga kyekuŋŋaanyizanga empeera mu bwamalaaya, empeera gye baggya mu bwamalaaya gye bajja okubeera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa; ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro; ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera. Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi, bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebifaananyi byakyo byonna, birisekulwasekulwa, ne birabo byonna biryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yabikuŋŋaanya nga biva mu mpeera ey'omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey'omwenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebifaananyi byonna bye kisinza, birimenyebwamenyebwa ne bizikirizibwa; era ebintu byonna bye kyafuna, birisaanyizibwawo omuliro. Kubanga kyabifuna okuva mu mpeera eweebwa bamalaaya baakyo. Kale biritwalibwa okukozesebwa awalala ng'empeera eweebwa bamalaaya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebifaananyi byakyo byonna birisekulwasekulwa n'empeera zaakyo zonna ziryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yazikuŋŋaanya nga ziva mu mpeera ey'omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey'omwenzi.