Micah 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyendiva nkungubaga ne nkuba ebiwoobe, ne ntambuza bigere bikalu nga ndi bwereere, ne mpowoola ng'ekibe, ne mpunuuna ng'ekiwuugulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe, ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya. Ndikaaba ng’ekibe, ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwa kino kyendiva nkungubaga, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambuddemu engoye zange era nga ndi bwereere; ndikungubaga ng'emisege, ndinakuwala nga bamaaya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mikka n'agamba nti: “Olw'ekyo nditema emiranga, ne nkuba ebiwoobe! Ndyeyambulamu engoye n'engatto, ne ntambula nga ndi bwereere. Ndiwowoggana ng'ebibe, ne nkaaba nga mmaaya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyendiva mpowoggana, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambudde engoye zange era nga ndi bwereere; ndikaaba ng'ebibe, ndijoonajoona nga bamaaya.