Micah 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ekiwundu kye si kya kuwona, kituuse ne ku Yuda, kituukidde ddala ku mulyango gw'abantu bange, ku Yeruzaalemu kwennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiwundu kye tekiwonyezeka, ne Yuda ky’alwadde. Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange, ne ku Yerusaalemi yennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekiwundu kye tekiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ebiwundu bya Samariya, tebiyinza kuwonyezebwa. Ate ne Buyudaaya anaatera okubonaabona mu ngeri ye emu. Okubonaabona kutuuse ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemu, omuli abantu bange!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebiwundu bye tebiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi.