Micah 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze abalowoolereza obubi, abateesa eby'obukambwe nga bali mu bitanda byabwe! Bwe bukya ne bakikola, kubanga balina obuyinza okukituukiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe; Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe, kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku buliri bwabwe! Obudde bwe bukya bongera okubukola, kubanga obuyinza obw'okubukola buli mu mikono gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ziribasanga abo abagalamira ku bitanda byabwe, ne bakeesa obudde nga bateesa okukola ebibi, era ne babikola ng'obudde bukedde, kubanga basobola okubikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku biriri byabwe! obudde bwe bukva, babukola, kubanga buli mu buyinza bw'emikono gyabwe.