Micah 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musituke, mugende! Wano tewali buwummuliro, kubanga kyayonooneka, kyafaafaagana; kyazikirizibwa obutazzikawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muyimuke mugende, kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe; olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza, kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muyimuke, mugende; kubanga wano si kiwummulo kyammwe; olw'obutali bulongoofu obuzikiriza n'okuzikiriza okutenkanika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musituke mugende, kubanga wano tewakyaliwo kiwummulo. Ebibi byammwe bizikirizza ekifo kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muyimuke, mugende; kubanga wano si kiwummulo kyammwe; olw'empitambi ezikiriza, era n'okuzikiriza okutenkanika.