Micah 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa omuntu ajja ng'ayogera bya mpewo na bulimba nti: ‘Nzija kulanga gye muli evviini n'omwenge,’ oyo ye yandibadde omulanzi w'abantu bano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti, “Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,” oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa omuntu atambulatambula era n'agenda ayogera eby'obulimba nti, “Nja kukubuulira ku mwenge n'ebitamiiza eby'amaanyi,” oyo ye aliba omubuulizi ow'abantu bano!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bano gwe baagala, ye mulanzi abalimba ng'agamba nti: ‘Nnanga nti mulifuna omwenge n'ebyokunywa ebirala ebitamiiza.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu atambula n'omwoyo ogw'okulimba, bw'alimba ng'ayogera nti Ndikulagulira eby'omwenge n'ebitamiiza, ye aliba omulaguzi ow'abantu bano.