Micah 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nzija kukukuŋŋaanya wenna, ggwe Yakobo; nzija kuleeta wamu abasigaddewo mu Yisirayeli; nzija kubaleeta wamu ng'endiga mu kisibo, ng'eggana mu ddundiro lyalyo; ebbiina eriwuuma olw'obungi bw'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo; ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri. Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro, ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo, ekifo kirijjula abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mmwe mwenna Ggwe Yakobo; ndikuŋŋaanya Abaisiraeri abaasigalawo; ndibateeka wamu ng'endiga eziri mu kisibo; ng'ekisibo ekiri mu ddundiro lyakyo, ekibiina ky'abantu abayoogaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ndibakuŋŋaanya mmwe mwenna Abayisirayeli abalisigalawo, ne mbaleeta wamu ng'endiga ezikomyewo mu kisibo. Ensi yammwe erijjula abantu ng'eddundiro erijjudde endiga. Balireekaana olw'obungi bwabwe”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sirirema kukuŋŋaanya ab'ewammwe bonna, ggwe Yakobo; sirirema kuleeta aba Isiraeri abalisigalawo; ndibateeka awamu ng'endiga eza Bozula; ng'ekisibo ekiri wakati w'eddundiro lyazo, baliyoogaana nnyo kubanga abantu bangi.
Recommended Reading