Micah 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaggulirawo ekkubo n'ayambuka ng'abakulembedde, balifubutuka ne bayita mu mulyango, balifulumira mu gwo. Kabaka waabwe aliyitawo ng'abakulembeddemu, Omukama nga y'abali mu maaso.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse, abayise mu mulyango abafulumye. Era kabaka waabwe alibakulembera, Mukama alibakulembera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo abatemera ekkubo alibakulemberamu; baliwaguza ne bayita ku luggi olwa wankaaki, era balifulumira omwo. Kabaka waabwe alibayitako n'abakulemberamu, Mukama yennyini ali mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abatemera ekkubo alibakulemberamu. Balimenya oluggi olwa wankaaki ne bayitawo. Kabaka waabwe, Mukama yennyini, alibakulemberamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo awagula ayambuse mu maaso gaabwe; bawagudde bayise batuuse ku luggi olwa wankaaki, era bafulumidde omwo; era kabaka waabwe ayise mu maaso gaabwe, Mukama abakulembedde.