Micah 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kyava agamba nti: “Nteesa okukolera ennyumba eno akabi, ke mutaasobole kununulamu nsingo zammwe. Temulitambuza malala, kubanga obudde buliba bwa kacwano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama kyava agamba nti, “Laba, ndireeta akabi ku bantu abo, ke mutagenda kweggyamu. Temuliddayo kubeera n’amalala nate kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, nteesa akabi ku kika kino, ke mutaliggya mu bulago bwammwe, so temulitambuza malala; kubanga ebiro ebyo biriba bibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyava agamba nti: “Ntegeka okubakolako mmwe akabi ke mutaliyinza kwewonya. Muliba temukyatambula nga mweyagala, kubanga ebiseera ebyo biriba bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nteesa akabi ku kika kino, ke mutaliggyamu bulago bwammwe, so temulitambuza malala; kubanga bino bye biro ebibi.