Micah 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo balibayisaako olugero, balibakiina mu nnyimba zaabwe ezikungubaga nti: ‘Tusigalidde ddala ttayo, omugabo gw'abantu bange agugabanyizzaamu, laba bw'agunzigyeeko! Ennimiro zaffe laba bw'azigabudde abajeemu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo abantu balikusekerera; Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti: ‘Tugwereddewo ddala; ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu. Mukama anziggirako ddala ettaka lyange, n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw'abantu bange, ng'agunzigyako! Agabira abajeemu ennimiro zaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, balibafuula mmwe olugero olw'abo abatuukibwako akabi, era balibayeeya mu luyimba olw'okukungubaga nti: ‘Tunyagiddwako buli kintu, Mukama atuggyeeko ensi yaffe n'agigabira abajeemu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw'abantu bange; ng'akinziyako! agabira abajeemu ebyalo byaffe.