Micah 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe mulumba abantu bange kyenkana ng'omulabe wammwe; aba yeetambulira agage mumukwakkulako omunagiro gwe, aba mu ddembe lye mumuyisa ng'omusibe w'omu lutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko ng’omulabe. Basika ne bambula eminagiro emirungi ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe, ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye musitukidde ku bantu bange ng'abalabe; abo abatayagala kulwana, muggyako ebyambalo abo abali emirembe, n'okuva kw'abo ababayitako mu bwesigwa nga teebagaala kulwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'addamu nti: “Naye abantu bange, mufuuse ng'abalabe. Abo abatayagala kulwana, mubanyagako ebyambalo byabwe nga babayitako awatali kye beeraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu nnaku zino abantu bange bayimuse ng'abalabe; muggyako essuuka ku ngoye z'abo abayita nga tebaliiko kye batya, ng'abantu abatayagala kulwana.