Micah 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakazi b'abantu bange mubagoba mu nnyumba ze beesiimiramu, n'abaana baabwe ne mubaggyako ekitiibwa kyabwe emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakazi b’abantu bange mubagoba mu mayumba gaabwe amalungi, abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa oguva eri Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakazi ab'abantu bange mubagoba mu nnyumba zaabwe ezibasanyusa; abaana baabwe abato mubaggyako ekitiibwa kyange emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakazi b'abantu bange mubagoba mu maka gaabwe agabasanyusa. Abaana baabwe abato ekitiibwa kye nabawa, mukibaggyako ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakazi ab'abantu bange mubagoba mu nnyumba zaabwe ezibasanyusa; ku baana baabwe abato mubaggyako ekitiibwa kyange emirembe gyonna.