Micah 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne ŋŋamba nti: “Muwulire mmwe, abafuzi b'ennyumba ya Yakobo, mmwe abakungu b'ennyumba ya Yisirayeli. Si mmwe mwandimanye ennunula entuufu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo, mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri. Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire, mbeegayiridde, mmwe abakulu ba Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri! Si mmwe mwandibadde mumanya obwenkanya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋamba nti: “Muwulire mmwe abafuzi ba Yisirayeli! Si mmwe mwandibadde mumanya obwenkanya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera nti Muwulire, mbeegayiridde, mmwe abakulu ba Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri; si kwammwe okumanya omusango?