Micah 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu baakyo balamulira nguzi: bakabona baakyo bayigiriza lwa mpeera; n'abalanzi balagulira ssente. Sso ate beeyinula Omukama ne bagamba nti: “Omukama tali mu makkati gaffe? Akabi tekasobola kututuukako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira, bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize, ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa. Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti, “ Mukama tali naffe? Tewali kinaatutuukako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulu baakyo basala omusango, nga bafunye enguzi, ne bakabona baakyo bayigiriza nga bamaze kupangisibwa, ne bannabbi baakyo boogera ebya Katonda nga bamaze kuweebwa ssente; so nga beesigama ku Mukama ne boogera nti, “Mukama tali wakati waffe? Tewali kabi kalitutuukako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulu baakyo balamula lwa nguzi. Bakabona bayigiriza, n'abalanzi mu kyo balanga bafune ensimbi. Ng'olwo beeyinula Mukama nga bagamba nti: “Mukama tali wakati mu ffe? Tetulituukibwako kabi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakulu baakyo basala omusango, baweebwe empeera, ne bakabona baakyo bayigiriza bafune ebintu, ne bannabbi baakyo balagula baweebwe effeeza; naye bo balyesigama ku Mukama nga boogera nti Mukama tali wakati waffe? akabi tekalitutuukako.